ABAVUGANYA ku bwassentebe bwa disitulikiti ez'enjawulo mu Buganda buli omu awaga. Okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole kya Vision Group ekifulumya Bukedde wakati wa November 2-14, 2020 kwazudde bino wammanga; E Wakiso, Matia Lwanga Bwanika (NUP) y'akulembedde n'ebitundu 78 ku buli 100.
Addirirwa Moses Mayanja (NRM) alina ebitundu 16 ku buli 100 ate Simon Nsubuga Mujambula owa FDC n'abeera n'ebitundu 6 ku buli 100. Abalala abavuganya kuliko Ahmed Bigali Kaweesa (JEEMA) ne Moses Seryazi owa FDC. E Mityana, Joseph Luzige (NRM) akyaleebya n'ebitundu 40 ku buli 100.
Kyokka b'avuganya nabo tabali wala kuba Patrick Mugisha Nshimye (NUP) alina ebitundu 30 ate Abdul Muyimbwa naye alina ebitundu 30 ku 100. E Mukono, Andrew Ssenyonga ssentebe wa disitulikiti alina okulwana ennyo okwezza entebe kuba abalonzi baalaze nti bamulonda 6 bokka ku buli 100.
Haruna Semakula Kayizzi (NRM) y'akyaleebya n'ebitundu 76 ku buli 100. Rev. Peter Bakaluba Mukasa (NUP) awagirwa abantu 15 ate Nicholas Munyagwa awagirwa abantu 3 bokka ku 100. Abalala abavuganya ku bwassentebe e Mukono kuliko; Godfrey Musisi Kiregga (DP) ne Peter Nsubuga atalina kibiina.
E Kiboga, Gerald Kalunda Nsiiro (NRM) akulembedde n'ebitundu 69 ku buli 100 ate Abdulatif Kambwe (NUP) alina ebitundu 31. E Lyantonde, abalonzi ebitundu 69 ku buli 100, baalaze nti bajja kulonda Fred Muhangi (NRM), addiriddwa Buluhane Matigo (NUP) alina ebitundu 23 ate Hada Mutagubya y'akyakoobedde n'ebitundu 9 ku buli 100. Cleophas Tukamarwa naye ali mu lwokaano.
Florence Namayanja (NUP) y'akulembedde ku bwammeeya bwa Masaka City ng'alina ebitundu 59 ku buli 100 n'addirirwa Emmanuel Lwasa Kawesi n'ebitundu 32 ate Charles Kabanda owa DP awagirwa abantu 10 ku buli 100. Abalala abavuganya mu Masaka City kuliko; Willis Mbabazi Bamwesigye (NRM), Pius Kiryowa, Robert Danny Kaweesi, Mohamad Ssembajja ne Francis Ssengabi.
E Mpigi, ssentebe wa disitulikiti Peter Claver Mutuluuza (NRM) awagirwa abalonzi ebitundu 27 ku buli 100. Fred Male (DP) y'akulembedde n'ebitundu 45 ku buli 100 ate Frank Kawooya naye awagirwa 27 ku buli 100. Abalala kuliko; Martin Ssendege Ssejjemba (NUP) ne Godfrey Kasasa Ssematimba.
Ab'e Rakai abasinga baalaze nti bawagira Godfrey Bajungu Mujambi (NRM) n'ebitundu 48 ku buli 100. Eriabu Ssango Kiggundu (NUP) alina ebitundu 25, Samuel Kaggwa Ssekamwa alina ebitundu 25 ate Robert Nyondo 1 ku 100. Abalala abavuganya kuliko; Ali Turyahikayo Barekye, John Kasiiba, Samuel Kaggwa Ssekamwa ne Elisa Nicholas Ssekitende (FDC).
Patrick Nkalubo (NRM) aleebya nnyo e Sembabule kuba abalonzi ebitundu 98 ku buli 100 baalaze nga bwe bajja okumulonda. Josephat Amooti Migadde bwe bavuganya awagirwa abantu 2 bokka ku buli 100.