OKULONDA KWABA kansala abagenda okukiikirira ekitundu kya Kireka ne Naalya ku district e Wakiso, kuzzeemu omukoosi oluvannyuma lw'abekitongole kyebyokulonda okukola ensobi ne bakyusa agamu ku mannya gab'esimbyewo, okuli erya John Mark Musoke ow'omuluka gwe Naalya ng'ono akolera Success Fm ne bamuteeka ku Namboole reserve polling station, ate peter Maiso alina okulondebwawo, n'ateekebwa e Naalya mu kifo kya Musoke, ekikeereyesezza okulonda mu bitundu ebyo.
MUNAMAWULIRE WA Bukedde Ruth Faith Nakanwagi naye akalulu ke akalondedde ku Namboole reserve polling station, ng'awerekeddwako omubaka eyakalondebwa Haji Bahir Mbaziira munnamawulire munne ng'ono agenda kukiikirira Kireka Ward ku district e Wakiso ng'avuganya ne Nansamba Prossy owa NRM, Agness Ssekajja FDC, Alice Nassuuna eyazze obwanamunigina.
Nakanwagi agambye nti alina essuubi nti agenda kawangula kubanga ekitundu mweyesimbye mwabadde aweerereza emirimu gye egyamawulire, era tewali kubuusabuusa.
Akubirizza abantu okwettanira okulonda, n'asuubiza okuweereza obulungi ab'ekireka nga bamulonze.
Haji Kazibwe Bashir omubaka eyakalondebwa agambye nti nga banamawulire, kibakakatako okusitula eddoboozi okubeera obumu n'okulwanirira ebiruma abantu mu bitundu era olwaleero azze okubugiriza Ruth Faith Faith Nakanwagi munnamawulire munne, era eyali kampeyini maneja we ng'anoonya akalulu k'obwa pulezidenti bwa Uja keyawuuta obuva emabegako.
Nze nga bwendaba Okulonda okwomulundi guno, tekujjumbiddwa nnyo nga okulonda okw'obwa pulezidenti okwaliko ssabbiiti ewedde