Friday, January 1, 2021

CRANES; Atamatiza mutendesi ku gwa Cameroon ekyambe kimulya

CRANES;  Atamatiza mutendesi ku gwa  Cameroon ekyambe kimulya

Leero (Lwakutaano);
Cameroon - Uganda, 2:00

LEERO (Lwakutaano), abazannyi ba Cranes lwe batandika okubaga ku mulimu gw'okukakasa omutendesi Johnathan McKinstry nti bagwanidde okubeera mu ttiimu eneezannya empaka za CHAN.

Bagenda kuttunka ne Cameroon mu guggulawo ekikopo kya Pre-CHAN Mini Tournament, ekiyindira e Cameroon awagenda n'okuyindira empaka za CHAN okuva nga January 16.

McKinstry yategeezezza nti tannafuna ttiimu gy'asuubira kutandisa mu CHAN ng'emipiira gino gy'alinamu essuubi okwetegereza enkwatagana y'abazannyi. "Mulina okulaga nti musobola okuwangula emipiira mu CHAN kuba ne Cameroon gye tuzannya, y'emu ku ttiimu eziriyo.

Mckinstry

Wadde bali waka ate balina erinnya, muteekwa okuzannya omupiira omutuufu," McKinstry bwe yategeezezza.

Yabalabudde nti wadde bali mu gwa kwegezaamu, balina okugutwala ng'ekikulu kuba gwe gumu ku gigenda okubawa ekifaananyi ku ttiimu ze bagenda okuzannya mu CHAN. Olutalo lw'ennamba lusinga kubeera kisenge wakati awali; Paul Mbowa ne Mustafa Mujuzi nga kuno kwe kulina okuva omu azannya ne kapiteeni Halid Lwaliwa.

Mbowa, abaddeko ku Cranes okumala akaseera kyokka nga tazannya ate Mujuzi abadde takyayitibwa.

Denis Guma naye asuubirwa okuzannya mu kisenge wakati kyokka tanneegatta ku Cranes oluvannyuma lwa ttiimu ye, KCCA FC okubeera n'omupiira gwa CAF Confederations Cup. Eddihhana ne AS Kigali ku Lwokubiri.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts