Thursday, January 7, 2021

Kkooti eyisizza ekibaluwa ki bakuntumye era atwala ekkomera lya Ssaza - Masaka

Kkooti eyisizza ekibaluwa ki bakuntumye era atwala ekkomera lya Ssaza - Masaka

Kkooti e Masaka eyisizza ekibaluwa ki bakuntumye eri atwala ekkomera lya Ssaza, Henry Kidega annyonnyole amayitire g'abasibe be baamukwasa kyokka n'alemwa okubazza mu kkooti nga bwe yabadde alagiddwa.

Abamu ku basibe nga bali mu kkooti.

Abasibe 98 babade balina okudda  mu kkooti e Masaka mu maaso g'omulamuzi Charles Yeitesi basobole okuteebwa kyokka abatwala ekkomera lino baakomezzaawo abasibe 46 bokka era be baayimbuddwa.

Bannamateeka b'abasibe bano abakulirwa Alexandar Lule basabye kkooti eragire Kidega ajje annyonnyole abasibe abalala gye baabatutte era omulamuzi n'amulagira okweyanjula nga 11 omwezi guno.

Ku basibe abaabuziddwawo kubaddeko Edward Ssebuufu eyakazibwako erya Eddie Mutwe,  Bukeni Ali amanyiddwa nga Nubian Li, William Ntege, Adam Matovu ne bannabwe abalala abasoba mu 50.

Bano bakwatibwa nga 30/12/2020 e Kibaale mu ggombolola y'e Mugoye disitulikiti y'e Kalangala ku bigambibwa nti beenyigira mu bikolwa ebiviirako okusaasaanya COVID n'okugezaako okukuma mu bantu omuliro.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts