AMAGYE gagumizza abantu abakolera mu Kampala nti tewali agenda kutabangula mirembe wadde bizinensi zaabwe noolwekyo bakomewo bakole.
Omwogezi w'ekibinja ky'amagye ekisooka, Maj. Bilal Katamba yagambye nti abantu abaagenda mu byalo okulonda babadde bakyatidde okudda mu Kampala okukola olw'ebigambo ebiyintihhana nti Kampala tali bulungi.
Katamba yagambye nti okuva ku lunaku lw'okulonda wabaddewo ababadde batambuza ebigambo nti Kampala essaawa yonna etabanguka kye yagambye nti kikyamu kubanga ebyokwerinda binywezeddwa bulungi.
Yayongeddeko nti amagye, poliisi n'abeebyokwerinda abalala abali mu Kamapla tebagenda kuvaamu kati era baakubeeramu okumala ebbanga eritali ggere noolwekyo abantu bakomewo bakole kubanga obukuumi weebuli.
Nga bali wamu n'abakakiiko k'ebyokulonda baalambudde Kampala n'ebitundu ebiriraanyeewo okwekenneenya embeera era baakakasizza nti, embeera nnungi abantu ba ddembe okudda ku mirimu gyabwe okukola.
Omwogezi w'akakiiko k'ebyokulonda Paul Bukenya yagambye nti, abatunuulizi b'ebyokulonda baakakasizza nti, Kampala ateredde oluvannyuma lw'akalulu era bizinensi zisobola okutambula obulungi.
Bukenya era yategeezezza ng'entegeka z'okulonda bammeeya ku Lwokusatu bwe ziwedde nga buli kimu kiri bulungi okutambuza akalulu n'asaba abalonzi okwenyigiramu nga bwe gwabadde ku kalulu akaawedde.