Wednesday, January 20, 2021

RDC Kawonawo obuwanguzi bwa bboosi we bumufuukuula

RDC Kawonawo obuwanguzi bwa bboosi we bumufuukuula

RDC wa Kira, Isaac Kawonawo kirabika akyamanyi okusala ddansi. Omanyi olwawulidde nti mukama we, manya Pulezidenti awangudde akalulu n'agenda ng'ayita mu bantu be abaabadde bakoze obubaga mu bitundu eby'enjawulo ajaganyize wamu nabo.

Abasajja nga beekuba akaama.

Twamuguddeko ku Don Courts e Kira ng'emiziki gimuyingidde era abaabaddewo kwe kumuwa ekyanya n'atandika okulaga ku ky'alinawo. Mu birala ebyamuleese essanyu mwe mwabadde n'abavubuka abeeyise aba FDC abaagambye nti ‘baalokose' ne balaba omusana ne badda ku ttiimu empanguzi eya NRM.

Janet Rutaboorwa (atudde ku ddyo) gwe baakazaako erya Maama Kyama ng'ono mukubiriza okuva mu ofi isi y'obwapulezidenti ne Juliet Kaniini nabo bwe baalabye RDC Kawonawo (mu ssaati ez'ebukuubo) ng'atabukidde omuziki kwe kumuwa engalo.

RDC yalumbye ne ku Kazinga Main ne yeegatta ku baayo okwabadde Henry Kabanda (mu ssaati enzirugavu), ssentebe w'ekyalo nga naye wa Tukole Task Force ebadde enoonyeza pulezidenti akalulu ne Martin Kabanda, ssentebe wa NRM ku kyalo ne batema ddansi n'okusala keeki nga bajaguza obuwanguzi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts