BW'OBEERA omumalirivu ate ng'olina ekiruubirirwa omulimu ne bwe guba omuzibu osobola okugukola n'oguggyamu ssente. Wadde nga bw'otuuka mu bifo awakalirirwa ebyennyanja (kkava) oluusi oyinza obutasikirizibwa kuyingira mulimu guno wabula ng'abagulimu bali mu zzaabu.
Bizinensi eno tekolebwa mwavu kuba ya ssente nnyingi olw'obuseere bw'ebyennyanja.
Ebyennyanja naddala empuuta nga ku myalo eri wakati wa 9,000/- okutuuka ku 12,000/- buli kkiro okusinziira ku bukulu n'obunene bw'empuuta eyo.
Empuuta entono eri wakati wa ssente 5,000/- ne 10,000/- ku mwalo wabula bw'emala okukalirirwa eba wakati 8,000/- ne 13,000/- eri abasuubula wabula ng'abaguzi ba ssekinnoomu babigulira ku miwendo gya njawulo okusinziira ku kitundu gye kitundibwa.
Kino kitegeeza nti buli emu ebaako amagoba ga 3,000/- nga bw'oba wakaliridde empuuta 500 ziba 1,500,000/-. Ku zino bw'oggyako ez'enku n'emisoso embirala egigenderako oba osobola okufissa 1,000,000/- mu nnaku bbiri oba mu wiiki emu.