ABAVUBI ku myalo egy'enjawulo mu disitulikiti y'e Masaka batabuddwa olw'ebyennyanja ebyongera okufa ekirindi.
Bano ku myalo okuli Kaziru, Bukakata, Lambu mu ggombolola y'e Bukakata n'emirala baategeezezza nti newankubadde ebyennyanja bitera okufa buli mwaka naye embeera eno babadde tebagirabangako ng'ekika ky'ebyennyanja kimu kye kifa mu kirindi.
Baagasseeko nti okunoonyereza okwakolebwa kwalaga nti tebifa butwa naye ekibitta tebannakimanya.
Bino baabitegeezezza abavunaanyizibwa ku by'envuba n'abekitongole ky'obutonde bwensi okuva ku disitulikiti ababadde banoonyereza ku mbeera eno w'etuuse ku myalo gy'e Masaka.
Moses Ssekabira omuvubi ku mwalo gw'e Kaziru agamba nti okuva kino bwe kyatandika, ebyennyanja bye bakwata byakendeera ekibatadde mu kutya okw'amaanyi kubanga tebakyayingiza ssente ng'abagagga amaato baagawummuza ekibatadde mu mbeera enzibu naddala ng'abaana baabwe bagenda kukola bigezo ng'ate abalala badda mu masomero.
Yayongeddeko nti newankubadde abakugu bakkirizza abantu okulya ebyennyanja bino naye balina okutya kungi kubanga waliwo n'ebyo bye bakwata nga tebinnafa
naye olufa bifuuka langi ate nga biwunya nnyo nga ne bwe babikalirira tebifaanana byennyanja bya bulijjo.
Rashid Babu, akulira kkampuni ya Mpongo evunaanyizibwa ku mwalo gw'e Lambu yategeezezza nti nabo bakyasobeddwa kubanga tebannamanya kituufu kyokka ng'okufiirizibwa kwa maanyi nnyo kubanga ebyennyanja tebikyafa nga ne bannannyini maato bangi bagasimba nga tebakyagenda mu nnyanja.
"Waliwo obulwadde obuyitibwa kaliro obutera okutta ebyennyanja naye kino kibeerawo mu wiiki emu ate nga ngege ze zifa naye kati empuuta ze zifa ate nga ze tusinga okufunamu nga walina okubaawo okunoonyereza ku kituufu."
Rose Nakyejwe akulira eby'obutonde bw'ensi mu disitulikiti y'e Masaka kino yakitadde ku kutyoboola butonde ng'abantu basuula kasasiro ow'obulabe mu mazzi, okulima mu ntobazzi ne ku mbalama olwo ebigimusa n'eddagala ery'obutwa ne liggukira mu mazzi. Kino kiyambako ebiddo okukula mu nnyanja ne bikendeeza omukka ebyennyanja bye gufuna.
Yasabye gavumenti aveeyo n'enkola erung'amya enkwata ya pulasitiika. Akulira eby'envuba ku disitulikiti, Moses Ssemambo yagumizza abavubi nti kino kigenda kuggwawo kubanga ebivuddeko ekizibu ky'ebyennyanja okuziyira ne bifa kigenda kuggwawo kubanga ebiddo ebiri ku mazzi biri mu kuvunda.
Bannakyewa abalwanirira obutonde bw'ensi mu kitongole kya Action for Sustainable Development Initiative balabudde gavumenti ku bunafu mu kukwasisa amateeka ku butonde bw'ensi nti ky'ekivuddeko obuzibu eggwanga ne lifiirizibwa ensimbi empitirivu.
Wednesday, February 24, 2021
Abavubi e Masaka bakyasobeddwa ku kitta ebyennyanja
Popular Posts
-
HERBERT Twine (wakati) eyakuyimbira ennyimba nga 'Saabisaanira, Sibyakyama, Ompangudde ne Siryerabira ...
-
EGGWANGA we libeeredde mu muggalo, abantu babadde ku mudido gwa bibbala ng'omwav...
-
Police in Mubende district have launched a manhunt for Khalisiti Mutatina, who is accused of stabbing to death his wife's lover, Ignitio...
-
HAJJI Abdul Kiyimba, mmeeya wa Kyengera Town Council ayogedde ku butakkaanya bwe yal...
-
EMBEERA y'akabuga Lukaya ku luguudo lwa Kampala-Masaka ekyali ya kimpoowoze okuva omuggalo gwa Corona...
-
For over the past year, Dfcu bank has received criticism for being reluctant with data security after leakage of vital information like bank...
-
In many homes around Jebel Boma county, dinner consists of bitter-tasting leaves that can be picked off the bushes outside. The leaves are...
-
ABATUUZE okuva mu byalo 10 ebikola omuluka gw'e Kasubi beeyiye mu bungi ku ssom...