
AMAGYE ne Poliisi bitandise ekikwekweto mu Kampala ne bakwata abantu abawerako nga babateebereza okuba abamenyi b'amateeka.
Abaakwatiddwa baabasanze ku luguudo lwa William, Wilson (mu Kinnamwandu), ku Arua Park n'ebifo ebirala.
Nga tebannaba kutandika bikwekweto, waliwo abantu abaabadde mu ngoye ezaabulijjo abaasoosenga okuketta mu bifo abeebyokwerinda nga tebannagendayo.
Wabula waabaddewo katemba ku kizimbe kya Mutaasa Kafeero, abasuubuzi bwe baatabukidde Poliisi n'amagye nga babalanga okuyingira mu kizimbe okuli amaduuka gaabwe ne batandika okukwata abo be baayise bakasitoma baabwe.
"Lwaki mukwata abantu munda mu bizimbe ate nga tewali bujulizi bwonna? Ekisinga n'okutwennyamiza abamu ku bantu be mukwata abantu baabwe batuuka okubanoonya nga tebabalaba noolwekyo tetugenda kubakkiriza kukwata bakasitoma baffe," abasuubuzi bwe baawuliddwa nga bacoomera abaserikale.
Ensonda ezimu mu by'okwerinda zategeezezza nti ekikwekweto kino kyakoleddwa oluvannyuma lw'obutambi obwabadde busaasaanyizibwa ku mikutu gya yintanenti nga waliwo abakunga abantu okwekalakaasa mu ngeri emenya amateeka.
Minisita w'ebyamawulire, Judith Nabakooba n'amyuka aduumira Poliisi mu ggwanga Maj. Gen. Paul Lokech, baagumizza Bannayuganda nti teri ajja kutabangula mirembe kubanga baayiye abaserikale abamala ne bambega mu Kampala n'ebitundu by'eggwanga ebyenjawulo okulaba nga bakwata buli ali emabega w'okukunga abantu okwekalakaasa.
EBIKWEKWETO KU BATEMBEEYI
Ekitongole kya KCCA nakyo kyakoze ekikwekweto ne bagoba n'okubowa ebintu by'abasuubuzi abaabadde batundira ku nguudo z'omu Kampala.
Bano baabadde bawerekerwako abaserikale ba Poliisi ekkakkanya obujagalalo. Ekikwekweto kino kyatandise ku ssaawa 3:00 ez'oku makya era abaserikale ba KCCA abaabadde batambulira ku kabangali baagudde ku basuubuzi abasinga obungi nga bayiye emmaali yaabwe ku nguudo olwo ne babuna emiwabo.
Omwogezi w'ekitongole kya KCCA, Daniel Nuwabiine yagambye nti abatembeeyi abamu balemedde ku nguudo okuva mu nnaku enkulu ekibawalirizza okusindika abaserikale baabwe okubagobako n'okubowa ebimu ku bintu byabwe kuba bakolera mu bifo ebimenya amateeka.
Jemba Kulonda akola ku byokwerinda mu kibiiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KACITA agamba nti batutte ekiseera nga bawandiikira KCCA okubaako ky'ekola ku batembeeyi naye nga kikyagaanye okussibwa mu nkola.
Source