
POLIISI ekutte omusajja Deo Osombe 42, agambibwa okufumita muliraanwa we ebiso n'afiira muddwaaliro. Olutalo wakati wa bano bombi lwavudde ku nsimbi ze yabadde atunze mu kibanja.
Osombe kigambibwa nti yafumise Yusufu Mwebesa 75, ow'e Lutengo, Naggalama ‘B' mu Town Council ya Naggalama Nakifuma mu disitulikiti y'e Mukono.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Oweyesigire agambye nti, Osombe yagenze ewa Mwebesa n'amusaba ku nsimbi ze yatunze mu kibanja ekyawalirizza mutabani we, Julius Mubiru 13 okukuba enduulu olwo Osombe n'afumita Mwebesa ebiso mu lubuto oluvannyuma n'adduka.
Mwebesa baamuyodde ne bamutwala mu ddwaaliro lya Dana Medical Center oluvannyuma gye yaggyiddwa n'atwalibwa mu ddwaaliro eddene e Kayunga gye yafiiridde.
Nnamwandu Aisha Nansamba ategeezezza nti bba yamutegeeza nti agenda kutunda ku kibanja asobole okwejjanjaba kyokka muliraanwa waabwe, Deo Osombe olwakitegedde kwe kutandika okumumpeeka ssente zino n'ekiddiridde kwe kumutta.
Ssentebe w'ekyalo, Lutengo, Geoffrey Kizza akuutidde abavubuka okukomya okulera engalo wabula bakole okwewala embeera eno.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwatibwa kwa Osombe nga mu kiseera kino ali ku poliisi y'e Naggalama ate omulambo guli mu ggwanika mu ddwaaliro e Kayunga.