
Bya MARTIN NDIJJO ENKUBA eyakedde okufudemba mu Kampala n'emiriraano ku Lwokuna egootaanyizza ebyentambula n'okwonoona ebintu.

Ku Lwokuna ku makya ebyentambula ku nguudo eziyingira mu kibuga Kampala byakedde kukaluba olw'enkuba eyakedde okutonnya amataba ne ganjaala mu bitundu ebimu ate nga n'abasuubuzi bwe bakaaba olw'amazzi okutwala emmaali yaabwe.
Mu bitundu by'e Banda abantu obwedda bali ku mugana okukola ssente nga bayamba kw'abo abaabadde balemereddwa okusomoka amazzi agaasazeeko oluguudo lwa Jinja Road mu kitundu kino.
Bbo abasaabaze nabo baalabiddwa bangi nga bakonkomalidde ku nguudo olw'okubulwa entambula ey'amangu ebatwala ku mirimu olw'omugotteko gw'ebidduka.
Source