
Bya KIZITO MUSOKE OMULANGIRA Kassim Nakibinge atongozza okuzimba ekizimbe eky'omulembe e Kibuli okugenda okubeera ekitebe kya Uganda Muslim Education Association (UMEA).

Ekizimbe kino kigenda kuwemmenta obuwumbi 38. Kujja kubeerako ennyumba z'okusulamu n'ezamaduuka era nga mu kiseera kye kimu kye kitebe kya UMEA. Bbanka ya Islamic Development Bank okuva e Saudi Arabia be batadde ssente mu kuzimba ekizimbe kino ekigenda okubeera ku bwagaagavu bw'ettaka bwa yiika ttaano.
Omulimu gw'okuzimba gugenda kumala omwaka gumu. Nakibinge bwe yabadde assa omukono ku ndagaano y'okuzimba ekizimbe n'aba kkampuni ya Vcon Construction Uganda Limited ne Ambitius Construction Limited abagenda okuzimba ekizimbe yagambye nti, ekizimbe kigenda kukulaakulanya Obusiraamu n'endabika y'ekizimbe.
Rajiv Ruparelia eyakiikiridde kampuni ya Vcon Construction Uganda yagambye nti, ekizimbe kino ng'oggyeeko okuganyulwa Abasiraamu, kigenda kutumbula n'ebyobuzimbi mu ggwanga. Ekibiina kya Uganda Muslim Education Association (UMEA) kigatta amasomero n'amatendekero agali wansi w'omusingi gw'Obusiraamu mu ggwanga.
UMEA yatandikibwa Omulangira Badru Kakungulu (azaala Nakibinge) n'ekigendererwa ky'okulaba nga kitumbula amasomero g'Obusiraamu. Kyava mu kubeera nga Gavumenti ebyenjigiriza yali ebitadde mu mikono gy'Abakristaayo n'Abakatuliki, ng'Abasiraamu balekeddwa bbali.
Kakungulu ne banne baakiraba nga singa abaana b'Abasiraamu tebasoma, tebalina ngeri gye baliganyulwa ku keeki y'eggwanga.