Thursday, February 4, 2021

▶️ Kabineti esazeewo abayizi baddeyo

▶️ Kabineti esazeewo abayizi baddeyo

Olukiiko lwa baminisita (Kabineti) lusazeewo abayizi bonna baddeyo ku ssomero. Kyokka bajja kuddayo mu biwagu.

Abasooka okuddayo amangu ddala ba P6, siniya 3 ne S5. Bagenda kwegatta ku bayizi abeetegekera ebigezo by'akamalirizo aba P7, S4 ne S6.

Amasomero agatalina bibiina bimala kusomesezaamu bayizi bonna, galagiddwa okubaawulamu abamu basome ku makya abalala olw'eggulo.

Abayizi abalala aba P1, P2, P3, P4 ne P5 bagenda kuddayo luvannyuma lw'ebibuuzo bya P7 (PLE) ebirikomekkerezebwa nga March 31, 2021.

Ate aba S1 ne S2 bagenda kuddayo ng'ebigezo bya S4 (UCE) biwedde nga April 6.
Buli muzadde ajja kugulira omuyizi masiki bbiri era lijja kuba tteeka buli mwana okuba nazo.

Abaana abato aba nnasale baakusigala waka kubanga tebasobola kugoberera mateeka agassibwawo okwewala corona.

Ekirala bakosebwa nnyo nga bakwatiddwa ekifuba, ssennyiga oba corona. Ate abasinga basoma bava waka, kino kyongera okubassa mu katyabaga k'okwetabika n'abantu abangi okuli abawaka, mu kkubo ne bannaabwe abava mu maka agenjawulo olwo ne
beesanga ku ssomero.



Pulezidenti Museveni asuubirwa okwogera eri eggwanga enkya ku Lwokuna okwongera okulambulula ensonga y'abayizi okuddayo ku ssomero. Kabineti eyatudde ku Mmande yawadde ensonga 18 okulungamya okuggulawo amasomero;

l. Kabineti ekakasizza era n'ekkiriza amasomero gaggulwewo okusinziira ku biteeso by'abakugu ba Minisitule y'Ebyenjigiriza. Kyokka abayizi bajja kuddayo mu biwagu okukakasa nga bagoberera amateeka agassibwawo okwewala corona.
2. Amasomero ga nnasale oba abayizi bonna abakyali mu nnasale tebajja kuddayo kusoma kubanga bano tebayinza kukwasibwa mateeka ga corona.
3. Aba minisitule y'Ebyenjigiriza n'abakugu ba Minisitule y'Ebyobulamu bateekwa kusooka kulambula masomero gonna mu ggwanga okukakasa nga geetegese
ekimala okuggulawo.
4. Okukakasa ng'abayizi omwaka tegubafa (dead year) aba P6, S3 ne S5 be bagenda okusooka okuddayo amangu ddala. Bwe baba tebagya mu bibiina olwo abaddukanya
amasomero baddembe okwawulamu abayizi abamu basome ku makya abalala eggulo.
5. Abayizi ba P7 bajja kumaliriza ebigezo nga March 31. Ate aba S4 nga April 6. Ebigezo bwe binaggwa olwo abayizi abo (P7 ne S4) badde eka. Olwo amasomero gajja
kuba n'ebibiina ebimala okusomesezaamu abayizi ba P1 okutuuka ku P5 n'aba S1 ne S2.

Abayizi Nga Basomera Ku Ttivvi

Abasomesa bajja kutandikirawo okusomesa abayizi nga bayita mu bye babadde
basomera awaka.

6. Abayizi abanaayawulwamu okusoma ku makya n'abalala eggulo, abasomesa baabwe bajja kulungamizibwa ku ngeri esinga obulungi ey'okuzza abaana mu bye babadde basomera awaka n'okugolola bye babadde basoma.

7. Abayizi okuyita okugenda mu bibiina ebiddako bajja kusooka kugezesebwa era bayite. Ebisaanyizo by'okuyita kuliko okujjumbira okugenda mu kibiina, okubuuzibwa
gattako okugesebwa (tests) kw'abaana mu kibiina.
8. Amatendekero g'ebyemikono (Technical Vocational Education & Training (TVET), amatendekero g'abasomesa ba pulayimale (PTCs) n'aba siniya (NTCs) gaakuggulawo
amangu ddala ng'ekyetaagisa kugoberera mateeka ga kwewala corona.
9. Tewali nsonga egaana matendekero ago waggulu kuggulawo mu bwangu kubanga galina buli kyetaagisa ate teri mujjuzo.
10. Yunivasite nazo zijja kuggulwawo mu biwagu okusinziira ku busobozi bwa buli ttendekero okugoberera amateeka g'okwewala corona.
11. Minisitule y'Ebyenjigiriza, ey'Ebyobulamu, Gavumenti Ezeebitundu n'abakulembeze b'ebitundu bateekwa okusooka okusomesa abazadde n'abayizi
okukakasa nga bategedde ensonga z'okwerinda corona.
12. Abayizi n'abantu ababeera ku ssomero (abasomesa n'abakozi abalala) bateekwa okunnyonnyolwa ebya corona n'okujjukizibwa buli lunaku n'okubakubiriza buli
omu okujjukiza munne.
13. Amateeka ga corona gajja kuzzibwa buggya buli kiseera okusinziira ku mbeera eriwo.
14. Minisitule y'Ebyobulamu ejja kussaawo ttiimu ya badokita okutuuka amangu mu buli ssomero erinaawulirwa nti bakwatiddwa corona.
15. Buli muyizi ateekwa okwambala masiki. Abazadde bajja kugulira buli muyizi masiki 2.
16. Amasomero gajja kussaawo enkola y'okulondoola abayizi abayosa, abalwadde n'abalina obubonero bwa corona kyanguyize okuzuula amangu ssinga wabaawo
omuyizi yenna akwatiddwa corona.
17. Okulondoola abayizi oba abasomesa aboosa kijja kussibwako nnyo amaanyi kiyambeko ttiimu z'abakugu ku disitulikiti okwanguyirwa nga waliwo abalwadde
oba abateeberezebwa okuba ne corona.
18. Buli ssomero liteekwa okuba n'enteekateeka y'okumanyisa amawulire agakwata ku corona eri buli muntu. Mu nteekateeka eno, amawulire ago gasaasaanyizibwa
mu bayizi, abasomesa, abakozi abalala ku ssomero n'abazadde.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts