Friday, February 19, 2021

Basanyukidde enongoosereza mu tteeka lya ssente za NSSF

Basanyukidde enongoosereza mu tteeka lya ssente za NSSF

Bya KIZITO MUSOKE                                                                                                                                                       ABAKULEMBEZE b'abakozi basanyukidde etteeka erifuga ensimbi z'abakozi ne basaba Pulezidenti Museveni alisseeko omukono, abakozi batandike okukozesa ku ssente zaabwe ze batereka mu NSSF nga tebannakaddiwa.

Palamenti yayisizza ebbago ly'etteeka lya National Social Security Fund (NSSF) Amendment Bill 2019 ne bakkiriza abantu abatannaweza myaka 55 okufuna ezimu ku ssente ze baatereka kasita babeera nga baweza emyaka 45 era nga baterekedde ebbanga erisukka mu myaka 10.

Omukozi awezezza emyaka 45 bw'amala emyaka esatu nga takola, abeera asobola okuggyayo ssente ze ezitasukka bitundu 40 ku buli 100. Etteeka era lyataddewo minisitule bbiri nga ze zivunaanyizibwa okulabirira ekittavvu kya NSSF okuli minisitule etwala abakozi ne minisitule y'ebyensimbi. Etteeka lyakkiriza n'abeekozesa ng'abakolera mu butale, abavuga bodaboda n'emirimu emirala okutandika okweterekera mu NSSF.

Kino kyakuyamba abantu n'okwongera okuyiga okutereka. Omukozi yenna ne bwaba yeekozesa asobola okutereka omutemwa gwa ssente buli mwezi mu NSSF. Omukozesa kimukakatako okuweereza ssente z'omukozi mu kittavvu era bw'alemwa okukikola awa engassi ya kakadde kamu oba okusibwa ebbanga eritasukka mwaka oba okukola ebibonerezo byombi.

Omukozi yenna aliko obulemu bw'alekeraawo okukozesebwa okumala omwaka mulamba ajja kukkirizibwa okuggyayo ssente eziwera ebitundu 75 ku buli 100 ku ze yatereka. Usher Wilson Owere, ssentebe w'ekibiina ky'abakozi ekya National Organisation of Trade Unions (NOTU) yagambye nti, ekyakoleddwa Palamenti kyamusanyudde kuba abakozi bangi ababadde bali mu mbeera embi nga bakoledde ebbanga ddene kyokka nga tebalina ngeri gye basobola kufuna ku ssente zaabwe.

Sam Lyomoki yagambye nti, ssente z'abakozi zirina kuyamba bakozi abakuze mu myaka n'abafunye obuzibu, kyokka ekibaddewo mu Uganda ng'ebintu bikolebwa bulala. Agnes Kunihira omubaka w'abakozi yagambye nti ekirala ekyamusanyudde mu tteeka kwe kuba nti, ligaana gavumenti okwewola ssente okuva mu NSSF nga Palamenti temaze kukkiriza.

Gavumenti yabadde esabye ebeere ya ddembe okwewola ku ssente z'abakozi buli lweba eyagalidde. Veronica Bichetero eyasomye lipooti y'akakiiko k'ebyamateeka mu Palamenti ku Lwokusatu yasembye omukozi yenna abeera awezezza emyaka 45 n'okusingawo ng'aterese okumala emyaka 10 okukkirizibwa okufuna ssente ezitasukka bitundu 20 ku buli 100.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts