Thursday, February 4, 2021

Kola ssente mu mayinja agava ku nsozi z'omuliro

Kola ssente mu mayinja agava ku nsozi z'omuliro

AMAYINJA okuva mu nsozi z'omuliro (Volcanic Mountains) mu ggwanga lya DR Congo gakola ssente. Abagasuubula bwe gatuusibwa mu Kampala nga bagasengeka okugakolamu ebintu eby'enjawualo nga, Salim Ramathan, ali mu mulimu guno bw'annyonnyola.

Amayinja gano tugaawulamu emirundi ena nga tusooka kuggyako amanene. Gano gakola nga bbulooka ezizimba amayumba nga zimaze okukomolwa mu sayizi ezenkanankana. Tegakubwa pulasita era galabisa bulungi ennyumba. Sayizi eddako (medium) eno eba ya byato ebyeyambisibwa mu masomero n'ebifo ebirala ebifumba ebyokulya ebingi.

Kuno kuddako obutono obweyambisibwa mu kukuuta ebigere ne kuddako sayizi entono ezisibibwa ku bisenge by'ennyumba mu maaso (slates). Wasembyayo obutono obulinga obukunkumuka nga buno bwa ssigiri ezifumba mu maka.

Emiwendo: Ebiyinja ebinene omusalibwa bbuloka biba bya 20,000/- buli kimu nga kisobola okuvaamu bbuloooka nga bbiri oba ssatu.

lEbitonotono ebigenda mu byoto by'amasomero bya 3,000/- buli kimu, ate bwo obukuuta ebigere bwa 1,000/-. Obutono obukunkumuka bwa 100,000/- akakutiya.

lLoole y'amayinja gano ekika kya magulukkumi, bw'ogirenga obulungi osobola okufissa ssente eziwera. Binnyonnyoddwa Salim Ramathan ali mu mulimu guno mu kisenyi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts