Thursday, March 11, 2021

50 bakwatidwa ku by'okwekalakaasa

50 bakwatidwa ku by'okwekalakaasa

Bya JOSEPH MAKUMBI, ERIA LUYIMBAAZI, VIVIEN NAKITENDE NE FAISAL KIZZA                                                  POLIISI ekoze ebikwekweto mw'ekwatidde abantu abasoba mu 50 abagambibwa nti bateekateeka okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka omuli n'okwekalakaasa nga bawakanya obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.

Poliisi ng'esudde emisanvu mu kibuga Mbale.

Ebikwekweto by'okufuuza abaabadde bakulembedde okwekalakaasa poliisi kwe yagambye nti, kwabaddemu ebigendererwa by'okutabula emirembe mu ggwanga, okunyagulula emmaali y'abantu n'okwokya ekibuga byatandise ku Lwakubiri akawungeezi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, ku Lwokubiri, baakutte abantu 40 nga ku bano, 30 baabakwatidde mu Kampala wakati ne batwalibwa ku CPS ate 10, baabakwatidde mu bitundu bya Old Kampala. Ku Lwokusatu, ebikwekweto byayongeddwamu amaanyi poliisi zonna ne zibyenyigiramu.

Segirinya (ku kkono) ne Kizito ku poliisi e Nateete.

E Kabalagala baakutte abasoba mu 10, Katwe, Kawempe, Jinja Road n'awalala era byagenze okuwunzika ng'abantu abasoba mu 100 bakwatiddwa. Abaabadde balaalise okwekalakaasa baasoose kusuula bupapula, ebipande ssaako ebiwandiiko ku mikutu gya Social Media nga bawandiiseeko nti, ‘eno y'essaawa' n'ebirala nga biriko ‘tajja kulayira.'

Mu baakwatiddwa, mulimu ne ssentebe wa National Unity Platform (NUP) mu Lubaga, John Baptist Ssegiriinya. Ssegiriinya yakwatiddwa ne Julius Kizito bwe baabadde bakulembedde ekibinja ky'abavubuka nga bakutte ebipande ebiriko ebigambo ebibanja kye baayise obuwanguzi bwabwe.

Kigambibwa nti omubaka omulonde owa Lubaga South, Alloysius Mukasa alina engeri gye yabadde ateeka ssente mu bavubuka bano. Atwala poliisi y'e Nateete, Francis Kidega yagambye nti, Ssegiriinya ne Kizito bagenda kuvunaanibwa omusango gw'okukuma mu bantu omuliro, n'alabula Bannayuganda abalala obuteenyigira mu bikolwa bimenya mateeka.

E Mbale, poliisi yakedde kusalako nguudo zonna eziyingira City oluvannyuma lw'okutemezebwako nga bwe wabaddewo abavubuka abaabadde bavudde e Kampala beegatte ku b'e Mbale mu kwekalakaasa. ASP Arafat Kato eyaduumidde ekikwekweto kino yagambye nti, baabadde baaza buli mmotoka eyingira ekibuga okukakasa nga tewali akola kajagalalo konna.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Elgon, Rogers Tayitika yalabudde abalina enteekateeza z'okwekalakaasa n'agamba nti, beetegefu okubanganga babakwate.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts