Thursday, March 11, 2021

Kayongo alabudde ku lukwe lw'okutwala ettaka lya Owino

Kayongo alabudde ku lukwe lw'okutwala ettaka lya Owino

Bya MOSES KIGONGO                                                                                                                                                             GODFREY Kayongo Nkajja, KCCA gwe yaggye ku bwassentebe bw'akatale ka St. Balikuddembe akamanyiddwa nga Owino asinzidde mu Amerika n'alabula abasuubuzi nti KCCA okweddiza akatale kaabwe, luwenda lw'abanene okutwala ettaka okuli akatale erirudde nga libasaaliza.

Kushaba ku mudaala gwe ogw'engoye.

Kayongo abadde yaakamala emyaka 35 ku bukulembeze bw'akatale. Yannyonnyodde ku nsaasaanya y'ensimbi bbiriyooni abasuubuzi ze baasonda okwekulaakulanya nga bayita mu kkampuni ya SSLOA, kwe baagula ettaka mu Kisenyi oluvannyuma ebyapa ne babisinga mu bbanka okwewolereko ssente ze baasasula okufuna ebyapa by'akatale. Ensimbi endala okuli ze babadde basolooza mu basuubuzi, yagambye nti babadde bazeeyambisa okusasula ebbanja lya bbanka n'okukola emirimu egiyimirizaawo akatale kano buli mwezi.

Ettaka ly'omu Kisenyi baaligula ettaka bbiriyooni ssatu n'ekitundu kyokka ebbanja lya bbanka lyali likuze okuva ku buwumbi buna n'ekitundu ne lituuka ku buwumbi 13. "Lyalinnya okutuuka wano kubanga waaliwo ekiseera KCCA we yayimiririza abasuubuzi okusasula ssente mu katale." Kayongo yagambye nti baalaba embeera etuuse wano kwe kwekubira enduulu mu bbanka enkulu n'ekkiriza ne babasonyiwako 2,204,000,000/- olwo ne bagenda nga basasula ezisigaddeyo era we batuukidde okubaggya mu ofiisi nga basigazzaayo obuwumbi bubiri, ebbanja balisonjole.

Kayongo yasabye buli alina ky'ayagala okumanya ekisingawo agende mu ofiisi z'akatale kuba ebitabo weebiri ebiraga ennyingiza n'ensaasaanya. Kayongo ng'asinziira mu Amerika, yalaze nti mu Owino mulimu emidaala 9,600 nga buli gumu gusasula 10,000/- omwezi, z'ensimbi 96,000,000/-.

Kayongo yagambye nti ng'akomyewo mu Uganda agenda kuddayo mu katale ng'omusuubuzi owa bulijjo n'annyonnyola nti obwassentebe bw'akatale abadde yabuvaako dda okuva lwe yafuuka omu ku bakulembeze b'ekibiina kya SSLOA ab'oku ntikko.

Eky'okukyusa obukulembeze bw'akatale yagambye nti takirinaako buzibu kubanga yali yasisinkana abakulira KCCA ne bakkaanya ku ky'okukola nga pulezidenti bwe yabalagira okukola. Yalabudde abasuubuzi baleme kugattika nsonga z'obukulembeze bw'abasuubuzi n'enzirukanya y'akatale omuli; okusolooza ssente z'empooza n'okutwala enteekateeka z'okwekulaakulanya mu maaso nti kuba mu Owino mulimu emidaala n'obuduuka obw'obwannannyni okwawukanako n'obutale nga Wandegeya ne USAFI, gavumenti bwe yazimbira abasuubuzi nga tebataddeemu wadde 100/- ekyabwe.

Okuggyibwa kwa Kayongo ku bukulembeze kyeraliikirizza abamu ku basuubuzi nga beebuuza ekiddako ku ssente zaabwe ezibadde zibagyibwako obukulembeze bwa SSLOA. Abasuubuzi abaakulembeddwa John Ssensalire ne Doreen Nambalirwa baagambye nti baagala Kayongo abannyonnyole ku ssente zaabwe.

Omu ku bali ku kakiiko ak'ekiseera Suzan Kushaba, yasoose ne yeerangirira ku bwassentebe kyokka minisita n'abiyingiramu.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts