Tuesday, March 16, 2021

Omwana ow'emyaka 10 ne maama bafudde butwa

Omwana ow'emyaka 10 ne maama bafudde butwa

OMUKAZI abadde anaatera okudda ku kyeyo alidde obutwa obumuttiddewo ne muwala we ow'emyaka 10, ate muganda we bwe babadde babeera ali mu ddwaaliro mu mbeera mbi.

Baabadde mu Church zooni we baakazaako ku Mabanda e Kabowa mu munisipaali y'e
Lubaga ku Ssande, maama bwe yasangiddwa mu nnyumba ng'afudde kyokka omwana we ne muganda we nga bataawa era eby'embi baabadde baakatuuka mu ddwaaliro, omwana n'afa.

Hadijah Namuyanja 27, abadde yaakadda okuva e Sweden, ye yafudde ne muwala we Husnah Ssemujju ate muto we Mariam Namuyanja ajjanjabibwa mu ddwaaliro.

Ekyavuddeko abaffamire eno okufa kikyatankanibwa ng'abatuuze abamu bagamba
nti bandiba nga baalidde butwa, abalala nti kiyinza okuba ekiziyiro kubanga bwe bagguddewo ennyumba baasanzeemu essigiri eyabaddeko omunaanaasi nga
bagufumba.

Isaac Ssewankambo, akulira ebyokwerinda mu muluka gw'e Kabowa yagambye nti, abaafudde babadde bapya mu kitundu nga babaddewo okumala wiiki bbiri zokka.

Yagambye nti nabo bakyebuuza ekyaleese obuzibu n'ategeeza nti, bandiba ng'obuzibu baabufunidde ku mulimu gy'abadde akolera. Jesca Natukunda, muliraanwa w'abagenzi agamba nti maama w'abaana abadde akeera n'agenda okukola nga babadde tebannabamanya nnyo wadde amannya gaabwe.

N'agamba nti baazuukuse ku makya ng'ennyumba ye nsibe ne basooka okulowooza nti baabadde bagenze kukola nga bulijjo.

Kyokka zaabadde ziwera ssaawa nga 7:00 ez'emisana omuwala yavuddeyo n'aggulawo oluggi n'agwa ku lubalaza ng'akaaba. Twamubuuzizza ky'abadde ng'awoza kimu nti ‘munnyambe!'

Natukunda yagambye nti yayise banne abalala era omu n'ayingira mu nnnyumba ne basanga ng'omukyala afi iridde ku buliri ng'omwana omulala eyabadde mu nnyumba akyalimu akassa ne babaddusa mu ddwaaliro e Mulago kyokka baabadde baakatuuka omu n'afa. Poliisi yaggyeewo omulambo n'egutwala.

BBA W'OMUGENZI ANNYONNYODDE
Ibrahim Ssemujju ng'ono y'abadde bba wa Hadija Namuyanja yategeezezza nti mukyala
we aludde nga yagenda ku kyeyo mu Sweden gy'abadde amaze ebbanga lya myaka ena n'ategeeza nti oluvannyuma lw'okubalukawo ekirwadde kya Covid19 yasalawo
okudda kuno okulinda embeera etereere ng'abadde ategeka kugenda Canada gye yabadde afunye omulimu.

Ssemujju yategeezezza nti okuva bwe yadda kuno abadde abeera waabwe e Ziroobwe ku kyalo Jjanda. Yagambye nti engeri gy'abadde akola ku mpapula ezimutwala e Canada, abadde yasalawo okufuna ennyumba gy'apangisa ng'abadde abeera ne muwala we eyafudde wamu ne muganda we Mariam ali mu mbeera embi.

Muwala We Husnah Ssemujju Naye Yafudde.

Yagasseeko nti baasembyeyo okwogerezeganya ne mukyala we ng'amubuulira ng'omwana bw'agenda okumuzzaayo mu kyalo e Ziroobwe ewa bazadde be
n'amusaba okumuwaayo ssente z'obuyambi.

ABAFFAMIRE TEBAMATIDDE NA NFA YA BANTU BABWE
Oluvannyuma lw'abadduukirize okumenya oluggi ne bayoolayoola abaana ababiri abaasangiddwa mu nnyumba nga bataawa ne babatwala mu ddwaaliro e Lubaga, kigambibwa nti abasawo baazudde nga abantu bano baabadde balidde butwa.

Abooluganda bwe baagenze okuggyayo emirambo ku ggwanika e Mulago, baategeezezza nti abaabadde abayi bwe baabatuusizza mu ddwaaliro e Lubaga ne basesema ebintu ebiddugavu ekiteeberezebwa nti bwabadde butwa.

Kyokka ebbaluwa eyakoleddwa abasawo ku ggwanika e Mulago yalaze nti baafudde kiziyiro ekintu ekyatabudde abaffamire ne bakiwakanya nga bagamba nti ate bwe kiba ng'abasawo be bamu abaasoose okujjanjaba abalwadde bano baazudde butwa ate eby'ekiziyiro byavudde wa?

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts