Thursday, March 18, 2021

Basabye wateekebwewo akakiiko akalonda anaakuliranga akakiiko k'ebyokulonda

Basabye wateekebwewo akakiiko akalonda anaakuliranga akakiiko k'ebyokulonda

EBIBIINA by'obwannakyewa ebirondoola eby'okulonda mu ggwanga bifulumiza lipoota eraze obwetaavu obw'okutondawo akakiiko akeetengeredde akanaavunaanyizibwanga okulonda akulira akakiiko k'ebyokulonda mu ggwanga.

Akakiiko kano kebayise ‘Electoral Commission Committee' bategeezeza nti mu nkola yaako ey'emirimu baagala kasookenga kwebuuza ku Bannayuganda ku muntu omutuufu gwe balaba aba asaanidde  okukulembera ebyokulonda by'eggwanga. 

Bano okuvaayo n'okusaba kuno kiddiride lipooti efulumiziddwa ekitongole kya Afrobarometer eraze nga Bannayuganda abasinga obungi bwe batakyalina bwesige mu kakiiko k'ebyokulonda akalondebwa pulezidenti w'eggwanga ,Yoweri Kaguta Museveni. 

Akulira ekitongole kya Afrobarometer ,Francis Kibirige bwe yabadde ayanjula okunoonyereza kuno yategeezezza nti Bannayuganda ebitundu 70 ku buli 100 buli lwe wabeerawo okulonda babeera ku bunkenke ssaako n'okutya okungi nga balowooza nti oba oli awo eggwanga lyandikosebwa obutabanguko .

Okunoonyereza kwe kumu kuno kwalaze nti Bannayuganda ebitundu 79 tebakkiriziganya na bibabeera bivudde mu kalulu, beetaba mu bikolwa eby'okwekalakaasa era nga bano bakkiriza nti oyo yenna abeera agudde mu kulonda asaanidde okukkiriza ebibeera birangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda .

Charity Ahimbisibwe , akulira ekitongole kya CCEDU yasabye gavumenti eyongere ssente mu kusomesa abantu ku bikwata ku byokulonda kiyambeko okuleetawo obukkakkamu buli ekiseera ky'okulonda bwe kiba nga kisembedde .





Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts