OMUTEEBI wa Man City, Sergio Aguero agambye nti mwetegefu okusigala mu Premier okusukka ku sizoni eno. Endagaano y'omuzannyi ono mu Man City eggwaako ku nkomerero ya sizoni eno kyokka ku nkomerero kyokka Pep Guardiola akyesisiggirizza okumuwa endagaano empya.
Aguero, 32, sizoni eno atawaanyiziddwa nnyo obuvune kyokka okuva lwe yassuuka obuvune, abadde azannya emipiira gya bbalirirwe. Bwe baabadde bawangula Monchengladbach mu gwa Champions League, omuzannyi ono yazannyeeko eddakiika 15 kyokka omupiira olwawedde, yeemulugunyirizza omutendesi we olwa banne obutamuwa mipiira eddakiika ze yamaze ku kisaawe.
Agava mu nkambi y'omuzannyi ono gagamba nti singa Man City eneemumma endagaano empya, waakunoonya ttiimu endala mu Premier kuba tayagala kuva mu Bungereza. Aguero yaakamala emyaka 10 mu Man City okuva lwe yagyegattako mu 2011 ng'ava mu Atletico Madrid.
Guardiola yategeezezza nti waakutandika okulowooza ku ky'okwongera Aguero endagaano mu nnaku ezijja ttiimu z'amawanga bwe zinaaba zittunka mu gy'omukwano n'empaka endala. Chelsea, PSG, Barcelona ze ttiimu ezisabirira ebya Man City ne Aguero bigwe butaka olwo zo zimwerondere.