Thursday, March 18, 2021

Muzibe akukulumidde aba UCC okumutwalako ekizindaalo kye

Muzibe akukulumidde aba UCC okumutwalako ekizindaalo kye

OMUVUBUUKA eyaziba amaaso akukulumidde ekitongole kya UCC okumutwalako ekizindaalo kye ng'ate mwe yali afuna ssente ezimubeezaawo ne famire ye.

Benon Mwebe 30, omutuuze ku kyalo Namalere mu ggombolola y'e Nangabo mu Wakiso agambye nti abasajja okuva mu UCC baamulumba ne bamutwalako ekizindaalo kye kwe yali alangira ebirango by'abatuuze ne bamuwaayo ssente. Agamba nti bano bamuzizzaayo mu mbeera y'okusabiriza.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Kansala w'ekitundu kino, Ibra Yiga  basabye aba UCC okuddiza mutuuze munnaabwe ebizindaalo bye bamulung'amye engeri y'okubikozesa mu kifo ky'okubitwala kubanga mwaggya ssente ezimulabirira ng'ate biyamba n'ekitundu.  

Omwogezi w'ekitongole kya UCC, Ibrahim Bbosa ategeezezza ng'ebikwekweto bino bwe biri mu mateeka ng'okuggyayo ebizindaalo bino baasooka kufuna kwemulugunya okuva mu batuuze. Yasabye abalina okwemulugunya okugenda mu kakiiko bateekeyo okwemulugunya kwabwe.

 

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts