Tuesday, March 16, 2021

Bayimirizza abazimba ku ttaka ly'eggaali y'omukka

Bayimirizza abazimba ku ttaka ly'eggaali y'omukka

Bya MADINAH NALWANGA ne TONNY KAYEMBA

OMUBAKA wa Pulezidenti mu Munisipaali y'e Kira, Isaac Kawonawo ayimirizza bonna abazimba ku bibangirizi by'ettaka ly'eggaali y'omukka mu Kira.

Kiddiridde akakiiko akaakola okunoonyereza ku ttaka ly'eggaali y'omukka akaalondebwa minisita w'ebyenguudo n'entambula, Katumba Wamala okuvaayo okulinoonyerezaako n'ekigendererwa ky'okuliggya ku bantu abaalisengako, basobole okuliddiza ekitongole. Kawonawo yasabye bassentebe b'ebyalo okufuna amannya g'abantu bonna abali ku ttaka lino abasulako n'abakolerako, okumanya omuwendo gwabwe omutuufu ng'emirimu gy'ekitongole teginnatandika.

Yakuutidde ab'ekitongole kino okulaba nga bayamba kw'abo abalina ebiwandiiko ku ttaka lino obutamala gabagobaganya n'abasaba okutwala enkiiko zino mu bantu babamanyise ekigenda mu maaso.

[image_library_tag c88e48eb-cca2-43f9-9d35-1c205763c809 703x466 alt="RDC wa Kira, Isaac Kawonawo ng'ayogera eri bassentebe b'ebyalo omuyita oluguudo lw'eggaali, wamu n'abaakakiiko akalondoola ettaka ly'eggaali y'omukka." width="703" height="466" ]
RDC wa Kira, Isaac Kawonawo ng'ayogera eri bassentebe b'ebyalo omuyita oluguudo lw'eggaali, wamu n'abaakakiiko akalondoola ettaka ly'eggaali y'omukka.

Kawonawo bino yabyogeredde ku kitebe kya munisipaali y'e Kira, mu lukung'aana lwe yayise okusisinkana ab'ekitongole kya Leerwe abanoonyereza ku ttaka lyayo, wamu ne bassentebe b'ebyalo omuyita eggaali y'omukka.

William Wilber Kototyo ssentebe w'akakiiko akanoonyereza ku ttaka lino, aka‘Uganda Railway Corporation Land Investigation Committee'  Yategeezezza ng'entambula y'eggaali y'omukka mu Uganda bwe yayonooneddwa abantu ab'enjawulo abakolera ku nguudo zino kw'ossa n'abo abazimba ku ttaka lya Leerwe nga kye kimu ku bireeseewo obubenje ku luguudo lw'eggaali,  abayiwako kasasiro, abookerako kasasiro n'abakolerako. Yasabye abalina ebyapa n'endagaano oba ekiwandiiko kyonna ku ttaka lino, babireete babayambeko okumanya ekituufu.

Hussein Kyazze akulira ebikwekweto mu kitongole kino yasabye bassentebe okwewala okuyingiza ebyobufuzi mu nsonga zino nga n'abamu baagaana abantu okwamuka ebitundu bino ekisibye omulimu okugenda mu maaso.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts