Thursday, March 18, 2021

Engeri abantu gye balowooza ku ky'okuba ne Pulezidenti omukazi

Engeri abantu gye balowooza ku ky'okuba ne Pulezidenti omukazi

Bya Huzaima Kaweesa                                                                                                                                                                      NGA tukyajaguza omwezi gw'abakyala ogwa March, tolema kwebuuza essuubi Uganda ly'erina okukulemberwako omukyala nga Pulezidenti. Nancy Kalembe eyaakava mu lwokaano lw'okuvuganya ku bwapulezidenti akukubidde ttooci mu ndowooza ya buli kitundu kya Uganda ku kuba ne Pulezidenti omukazi nga bwe yagiraba bwe yali mu kampeyini.

Nancy Kalembe bwe yali anoonya akalulu.

Nancy Kalembe agamba nti: Bwe natuuka mu kuwenja akalulu  naddala mu bitundu ebimu  nasanga  obuzibu mu basajja nga tebakkiriza nti ddala nsobola.

BUGISU:  Nasangayo okusoomoozebwa ng'abaayo balowooza nti omukyala tasobola kufuga  era nzijukira eno bambuuza nti lwaki sirekedde abasajja ne bafuga  era oluvannyuma baatugamba nti ewaabwe  omukyala tasobola kubafuga.

SEBEI: Eno abaami abamu baagamba nti bwe nnaafuka pulezidenti nja kuwaganyaza bakyala baabwe era kabeera kabonero akalaga nti abaami bonna banafu.

BUKIIKAKKONO: Okwawukanako n'ebitundu ebirala , eno bannyaniriza bulungi  era m baalina ekirowoozo nti kirabika bwe banaalonda omukyala kijja kuteekawo essuula empya ey'emirembe bo gye baagala. 

Okusinga  baafuna okusoomoozebwa nga okubbibwako ebintu byabwe nga ente n'ebirala wamu n'okufiirwa abaana baabwe nga bali mu kiseera ky'okuzaala  ng'eno okujja kwange baakulaba nga omukisa nti ensonga z'abakyala nja kuzikwata bulungi ddala era ne bandabamu ekifaananyi kya maama w'eggwanga.

Nzijukira bwe nali  e Gulu waliwo ekibinja ky'abasajja abajja nga bagamba nti omuntu yekka asobola okutegeera obulumi bwe bayitamu abeera maama nga bo baali bamalirivu okugenda mu maaso n'okumpa obuwagizi.

BUGWANJUBA:  Abasajja baayo  tebaafaayo   nnyo oba  oli mukazi oba oli musajja bo baali bagamba nti tewali  muntu mulala asobola kufuga ggwanga okujjako pulezidenti Museveni nga bagamba nti abakoledde buli kimu mu kitundu kyabwe. 

Okutwaliza awamu abakyala buli gye natuukanga  nga bannyaniriza bulungi kubanga bandaba nga ekifaananyi kyabwe ekigenda okutuusa obulungi ebirooto byabwe okuggyako mu bitundu bya Buganda  bo  tebanjagala bulungi nga bagamba nti nzize kwonoona bululu bwa bantu baabwe be baagala.

BUGANDA:  Nasangamu okusoomoozebwa nti ate bakyala bannange baavangayo lwatu ne banvuma nga n'abamu bampeereza obubaka kw'ossa okunkubira amasimu  nga banvuma nti lwaki nzize okwonoona obululu.

Natambula disitulikiti 127 mu biseera by'okunoonya akalulu, newankubadde nga zonna 146 saazimlaayo era nasobola okutambula ezisinga obungi .

ABAKYALA MU BUKULEMBEZE.

Abakyala abakyaganye okwenyigira mu bukulembeze  mbategeeza nti ebimu kubitasanyusa ebiri mu nsi yaffe  simusango gw'abo ababikoze bokka nye era musango gwo ggwe omukyala asirise kubanga ffe  abakyala twatondebwa nga ffe tusinga  okulumirirwa eggwanga .

Bw'otunuulira abakyala abali mu bukulembeze  olabawo enjawulo nnene era be bamu ku bakulembera mu kuteesa ebintu eby'amakulu Kino kitwongera amaanyi  n'okwekkiririzaamu ffe nga abakyala nti tulina omugaso muggwanga

Eri abaana abawala 

Balina okwekkiririzaamu era omuntu bw'akugambanga nti kino tekisoboka  kubanga tekikolebwangako mukazi omugambanga nti  ‘'Okulemererwa kw'omulala tekitegeeza kulemererwa kwange'' . Omuntu bw'aba yalemererwa n'atawangula  tekitegeeza nti nange bwentyo.

Buli ky'obeera ogenda okukola olina okusooka okwekwata ennyo Mukama Katonda asobole okukulembera mu buli kimu. Omumanyi omu yagamba nti ‘' Katonda bw'aba akuyimusa teyebuuza ku byafaayo byo na  bikwetolodde  wabula akikukolera bukolezi  nga bw'ayagala''.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts