Bya Paddy Bukenya
OMUGAGGA eyapangisa ekibira kya gavumenti okusimba emiti awuniikirizza abakulembeze b'e Mpigi, bwe basanze nga yakisimbamu njaga n'okuzimba ebiyumba by'embuzi.
Abakulembeze bano abaakulembeddwamu avunaanyizibwa ku butonde bw'ensi, Esther Nampeera be baabadde balambula ekibira kino ekya Mpondwe Forest Reserve ekisangibwa mu ggombolola y'e Kammengo mu Mpigi ne basanga ng'omugagga eyakipangisa okusimba emiti akirimiramu njaga n'okulundiramu embuzi ze.
Olukiiko lwa disitulikiti y'e Mpigi oluvunaanyizibwa ku bikolebwa ebivaamu ensimbi olukulemberwa Ssentebe Joseph Kasule Mugagatte nga luli wamu ne Esther Nampeera balambudde ekibira kino ne basanga nga munnamagye Maj. Moses Musinguzi akolerayo mirimu mirala ekintu ekimenya amateeka.
Ku mabbali, munnamagye ono yasimbayo emiti okuwuddisa abantu kyokka munda waliyo olusuku lw'ebitooke, enjaga n'embuzi.
Ssentebe Joseph Kasule yategeezezza nti ekibira kino baakigobamu abantu abaali baimiramu nga baagala okuzzaawo emiti kwe kukiwa omugagga kyokka yadda mu kukolerayo bintu birala.
Kyokka Maj. Moses Musinguzi eby'okulima enjaga ebyegaanye n'ategeeza abatuuze be bagirimirayo mu bubba kyokka n'akkiriza nti ebitooke bibye nga yasimbye mmere y'abakozi abamukolerako ku ffaamu y'embuzi.
Yategeezezza nti si buvunaanyizibwa bwa disitulikiti okulambula by'akolera mu kibira kubanga si be baamuwa olukusa ng'aba NFA be bamanyi endagaano kwakolera.
Akulira eby'obutonde bw'ensi mu Mpigi, Esther Nampeera yategeezezza nti waakusisinkana ekitongole kya NFA ne Musinguzi okwongera okwekenneenya endagaano n'ekitundu ekyamuweebwa.