Monday, December 7, 2020

Katureebe awaddeyo enju y'Obwassabalamuzi

Katureebe awaddeyo enju y'Obwassabalamuzi

EYALI Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe Magunda awaddeyo mu butongole amaka g'obwassaabalamuzi eri eyamuddira mu bigere omulamuzi Alfonse Owinyi Dollo. Amaka gano gasangibwa Nakasero nga abali mu ssigga eddamuzi bagamanyi nga "State House of the Judiciary" era gasulibwamu Ssaabalamuzi abeerawo mu kiseera ekyo nga kati ye Dollo.

Dollo okuyingira amaka gano kiddiridde Katuleebe okuwummula emirimu gy'obulamuzi nga June 20, 2020 amaka n'agavaamu okutuusa pulezidenti Museveni bwe yalonda Dollo okumuddira mu bigere. Omukolo gwabadde mu maka gennyini e Nakasero nga Katureebe yawerekeddwaako mukyala we, Benadete Katureebe ne Dollo n'awerekebwako owuwe Florence Nakachwa.

Omukolo gwabaddeko abagenyi okwabadde omuwandiisi w'essigga eddamuzi ow'enkalakkalira Pius Bugirimana, abalamuzi ba kkooti ez'enjawulo okuva ku y'oku ntiko okutuuka wansi era baamukwasizza ekirabo nga bamwebaza by'akoledde essiga eddamuzi.

Related Posts Plugin for WordPress, Blogger...

Popular Posts